Okusika omuguwa kweyongedde mu Kampala ku nsonga ze Kiteezi era mu kiseera kino, bangi ku batuuze b’omu Lusanja – Kiteezi, basobeddwa eky’okuzaako.
Olunnaku olw’eggulo, Minisita omubeezi owa Kampala, Christopher Kabuye Kyofatogabye yalabudde abantu be kiteezi abakyesisiggiriza okwamuka amaka gabwe agaliraanye kasasiro, okukwatamu ebyanguwa ng’obudde bukyali kubanga essawa yonna eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ligenda kutandiika okuzimba bbugwe okwetoloola ebifo byonna gavumenti byeyazuula nti bya bulabe eri abantu.

Kyofatogabye era anenyezza nnyo bannabyabufuzi abateeka ebyobufuzi mu buli kimu abantandise n’okuvumirira engeri gyebaawaddemu musigansimbi okuva e Ghana ekifo kye Kiteezi okukitereeza kyagamba nti tekitwala ggwanga mu maaso.
Minisita Kyofatogabye agamba nti bannabyabufuzi basukkiridde okuzannya eby’obufuzi ku nsonga ez’enjawulo wabula mu kiseera kino ku nsonga z’omu Kiteezi, teri kwebuuza nnyo kuba bakooye okuzannya katemba.
Ate omubaka wa Nakawa East, Ronald Balimwezo Nsubuga asabye Minisita Kyofatogabye okwebuuza ku bakulembeze abalala mu Kampala omuli n’olukiiko lwa KCCA, okusobola okwewala okukola ensobi.
Omubaka Balimwezo agamba nti wadde balowooza nti bakola ensonga mu bwangu, singa balemwa okutambuza ensonga mateeka, bayinza ate okutomeza musigansimbi.
Agamba nti kikyamu Minisita Kyofatogabye okukola ensonga nga tewali kwebuuza ku bakulembeze.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VtRQ59MZMDo