Poliisi y’e Luweero ne Bombo batandiise okunoonyereza kabenje k’olunnaku olw’eggulo nga 16th October 2024 mu Tawuni Kanso y’e Sinalya e Bombo mu disitulikiti y’e Luweero ku luguudo lwe Kampala Gulu.
Akabenje kabaddemu emmotoka 2 okuli UBL 502Z T/Hiace era ddereeva yafiiriddewo ne Fuso namba UBN 052L.

Abantu 6 bafiiriddewo ate 5 ne batwalibwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Abaafudde kuliko Mfitumukiza Rogers, Opirisa Charles, Ebong Joshua, Mugerwa Ephraim, Kato n’omulala atamanyiddwa bimukwatako.

Okunoonyereza kulaga nti Fuso yabadde eva Kampala kyokka ddereeva bwe yabadde agezaako okuyisa, yayingiridde Takisi, Hiance eyabadde eva Gulu okudda mu Kampala era abantu 6 bafiiriddewo.

Okusinzira ku ASP Sam Twiineamazima, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Poliisi yasobodde okutwala mu ddwaaliro lya GMH Bombo abantu 5 okufuna obujanjabi ate emirambo mu ddwaaliro e Luweero okwekebejjebwa.

Emmotoka zonna zitwaliddwa ku Poliisi y’e Bombo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=KUypSLL-PZY&t=7s