Ba seneta mu ggwanga erya Kenya, bagobye Rigathi Gachagua abadde amyuka William Ruto ku bwa Pulezidenti bwa Kenya.

Gachagua agobeddwa mu kiseera ng’ali mu ddwaaliro lya The Karen.

Bannamateeka be bagamba nti yabadde afu  nye obuzibu mu kifuba era yabadde asabye okwongezaayo okwekeneenya ensonga ezo mu Seneti, okutuusa ku Lwomukaaga kuba yabadde yegaanye emisango gyonna 11.

Mu Seneti, ebitundu 2/3 ku Baseneta 67 byafuniddwa, era bwatyo Gachagua agobeddwa mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Asingisiddwa emisango 5 omuli okuleeta enjawukana mu bantu nga yeesigama ku mawanga, okuvvoola Pulezidenti Ruto n’emisango emirala.

William Ruto ne Rigathi Gachagua

Wabula emisango 6 omuli okulya enguzi, okwenyigira mu kukusa ssente n’emisango emirala, gimugiddwako.

Gachagua agobeddwa nga yakamala mu offiisi ebbanga lya myaka 2.

Ki ekiddako

– Ennyingo ya 149 mu sseemateeka w’e Kenya, egamba nti Pulezidenti alina ennaku 14 okulonda omumyuka omupya.

– Singa alonda erinnya, Palamenti erina ennaku 60, okakasa erinnya eryo.

Agava e Kenya

Prof Kithure Kindiki, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda alina omukisa okudda mu bigere bya Rigathi Gachagua.

Agava e Kenya, galaga nti wadde Gachagua yagobeddwa, alina omukisa okuddukira mu kkooti enkulu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ghBBK7yclBs&t=2s