Kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) Achileo Kivumbi ne Anthony Agaba, amanyikiddwa nga Bobi Young, balabiseeko mu kkooti y’amaggye e Makindye.

Bonna babiri (2) bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu ebigambibwa nti by’amaggye omuli ennyota.

Mu kusooka Kivumbi bwe yasaba kkooti okweyimirira, waliwo okutya nti singa ayimbulwa, ayinza okutaataganya okunoonyereza.

Achileo ne Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu

Munnamateeka wa Kivumbi, Shamim Malende ne George Musisi nebavaayo ne bagamba nti tewali nsonga yonna eyinza kulemesa muntu we kuyimbulwa.

Ate ebya Bobi Young, bannamateeka bagamba naye alina buli kisanyizo okuva mu kkomera.

Kati no, kkooti y’amaggye olunnaku olw’eggulo ku Mmande, yayimbudde Achileo ku bukadde 2 ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 10 ezitali za buliwo.

Kkooti yalagidde Achileo okwewala okugenda mu bitundu bye Kampala ne Wakiso nga tebafunye lukusa.

Ate Boby Young yalagiddwa okudda mu kkooti nga 30, October, 2024 okuddamu okuwuliriza ensonga ze.

Achileo nga yakulira ebyokwerinda ku kitebe kya NUP, yakwatibwa nga 1, August, 2024.

Amyuka Omwogezi wa NU Waiswa Mufumbiro, Achileo, Ssaabawandiisi wa NUP Lewis Rubongoya ne Robert Ssentemu

Wabula Bobi Wine agamba nti wadde Achileo yavudde mu kkomera, kikyamu okutyoboola eddembe ly’obuntu nga bakwatibwa ne basibwa ku misango egitaliiyo.

Ate Achileo agamba nti bwe yabadde mu kkomera, yatulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OLMQ_FGwzwg