Poliisi mu Kampala, etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje, ekimotoka ekitambuza amafuta namba UAM 292Q bwe kyagudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri mu Katawuni k’e Kigoogwa ku luguudo oluva e Kampala – Bombo.

Webwazibidde, nga Poliisi yakazuula emirambo 11 okuli egy’abaana abato babiri (2) nga baayokeddwa era kizibu okubategeera nga n’abasukka 10 baddusiddwa malwaliro okuli Mulago, Bombo ssaako ne Kiriniki eziri okumpi, okufuna obujanjabi.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti amayumba 4 gaakutte omuliro, amadduka 11 gasanyiziddwawo era byonna bagenda kubinoonyerezaako.

Onyango agamba nti abantu okuvaayo mu bungi okubba amafuta, y’emu ku nsonga lwaki abantu bangi baafudde.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya famire z’abagenzi okuweebwa emirambo gyabwe.

Kigoogwa kiri mu bitundu bye Matugga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=1s