Omuvubuka, eyali omuli wa ssente w’omu Kampala, Nduhukire Nasser amanyikiddwa nga Don Nasser, aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 6, November, 2024
Don Nasser myaka 38 nga mutuuze mu zzoni ya Kito mu disitulikiti y’e Wakiso, yasimbiddwa mu kkooti n’omuwala we Ateete Promise myaka 19.
Mu kkooti, ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuwala myaka 16 ssaako n’okumukukusa.
Omuwala eyavaako obuzibu, yamugya ku Tagore apartments e Kamwokya, namutwala makaage mu zzooni ya Kito e Kira era yamusobyako okumala ennaku 4, okuva nga 23 okutuusa nga 27, May, 2024.
Don Nasser n’omuwala Promise baziddwa ku limanda, webasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi, wali ku Buganda Road mu Kampala enkya ya leero.
Omulamuzi amutegezezza nti waddembe okuddukira mu kkooti enkulu okusaba okweyimirira.
Friday Roberts Kagoro, munnamateeka wa Don Nasser agamba nti omuntu we talina musango era alina essuubi nti essaawa yonna alina okuva mu kkomera.
Kagoro agamba nti balina essuubi nti bagenda kuddukira mu kkooti enkulu okusaba omuntu we okweyimirira, okusobola okuva e Luzira.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AWD1BpKhBkg