Embeera ekyali ya kiyongobero, mu katawuni k’e Kigoogwa, e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, oluvanyuma lw’ekimotoka ky’amafuta, okutta abantu baabwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Ekimotoka kyagudde ku luguudo lwa Kampala – Bombo era kyakutte omuliro mu kiseera ng’abatuuze, bagezaako okubba amafuta.
Mu kiseera kino Poliisi egamba abantu 15 bebaakafa, okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango.
Abantu 24 bali mawaliro ag’enjawulo n’okusingira ddala Kiruddu nga mu kiseera kino 15, bali mu busenge omujjanjabirwa abayi (ICU) ate 9 bali ku bitanda naye embeera mbi.
Abatuuze b’e Kigoogwa basabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje.
Ate abasuubuzi abaafiriddwa ebintu byabwe basabye Gavumenti okuvaayo okubaduukirira okusobola okutambuza obulamu.
Abatuuze bagamba nti emputtu y’abatuuze banaabwe nga baagala okubba amafuta y’emu ku nsonga lwaki baafudde.
Bagamba nti ddereeva w’ekimotoka olwavudde mu mmotoka, yalabudde abatuuze okudduka ng’abo balowooza kimu kubba mafuta.
Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni asobodde okuwa buli famire eyafiiriddwako omuntu, obukadde 5 okuyambako mu kuziika ate abali mu ddwaaliro, Pulezidenti abawadde akakadde kamu (1M) okubayambako mu ddwaaliro.
Pulezidenti Museveni agamba nti balina okunoonyereza okutuusa nga bazudde ekyavuddeko akabenje oluvanyuma balowooze ku ky’okusasula abatuuze abaakoseddwa omuli n’abasuubuzi.
Olunnaku olw’eggulo, Poliisi yalagidde famire ezafiiriddwako abantu baabwe, okugenda okwekebeza ndaga butonde (DNA) okusobola okuzuula abantu baabwe.
Onyango agamba nti abantu baayidde ne basiriira nga kizibu nnyo okweyambisa amaaso okutegeera ani yani.
Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago.
Bambi – https://www.youtube.com/watch?v=_B1x1mGN-ec&t=59s