Gavumenti evuddeyo ku bantu abegumbulidde okusima eby’obugagga eby’omu ttaka mu ngeri emenya amateeka.

Omwezi oguwedde ogwa September, 2024, abatuuze ku kyalo Mpalo mu Tawuni Kanso y’e Namayingo mu disitulikiti y’e Namayingo, babadde mu kunoga ssente nga bakeera kuyikuula zzaabu.

Ku kyalo, kubaddeko abantu abasukka mu 2,000 abakeera okuyikuula zzaabu wabula Gavumenti yabayimirizza.

Kati no, Minisita w’amasannyalaze n’obugagga obwensibo Ruth Nankabirwa agamba nti abantu abo, baludde nga bakola omulimu mu ngeri emenya amateeka.

Minisita Nankabirwa agamba nti omuntu yenna, ku ttaka lye, alinako ffuuti 15 zokka waziikibwa nga singa azuula ekintu kyonna ekiri wansi mu ttaka kiba kya Gavumenti.

Mungeri y’emu agamba nti, olw’abantu okweyambisa enkola ezibatta, nga babuutikiddwa ettaka n’okufuna endwadde omuli engalo okulwala y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti, tesobola kubakkiriza.

Min Nankabirwa

Minisita Nankabirwa agamba nti singa bazuula eby’obugagga mu ttaka, abatuuze bonna balina okutemya ku Poliisi.

Minisita okwogera bino abadde ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu Kampala bw’abadde atangaanza ku mwoleso gw’ebyamasannyalaze oguggulwawo nga 28 omwezo guno okutuusa 2 November. 

Wiiki eno etuumiddwa ‘Energy and Mineral week’ nga agenda kutegekebwa minisitule y’Amasannyalaze n’Ebyobugagga eby’omuttaka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A