Gavumenti emaliridde okuleeta abajjulizi, okusiba Charles Olimu, amanyikiddwa nga Sipapa.

Sipapa ali mu kkooti enkulu ku misango 13 egy’okubbisa eryanyi ne mukyala we Rukia Nakiyemba.

Emisango egyo giri mu maaso g’omulamuzi Micheal Elubu.

Kigambibwa yeenyigira mu bubbi obw’enjawulo omuli Jacob Arok, mu maakage Bunga – Kawuku, Makindye nga 29, August, 2022 omuli ssente akawumbi akasukka akalamba, TV, amassimu, kompyuta ssaako n’ebintu ebirala.

Munnamateeka wa Sipapa, Joseph Henry Kunya, agamba nti abantu be, basalawo okuwuliriza omusango okusinga okumala obudde nti basaba okweyimirirwa.

Munnamateeka Kunya agamba nti omusango okutambula akasoobo, kivudde ku Omulamuzi Elubu okuba n’emisango egy’enjawulo omuli n’ogwa Thomas Kwoyelo, eyali omuduumizi w’akabinja k’Abayeekera aka Lord’s Resistance Army (LRA) ogwasaliddwa wiiki ewedde mu kibuga Gulu.

Gavumenti egamba nti erina abajjulizi abali 17 kyokka enkya ya leero baleese omujjulizi owo’okutaano (5). Newankubadde Sipapa ali mu kkomera, asinga bangi abali ebweru okunyirira.