Poliisi y’e Nsangi ekutte Seeka Swaibu Binijjuma Waddindi ku misango gy’okusobya ku mwana we, omwana Mujjananyina myaka 8.

Seeka Swaibu nga mutuuze we Kyengera Mugongo A, ddereeva wa Takisi mu Ppaaka y’e Nateete.

Mukyala w’omusibe, Namanda Phiona, agamba nti wiiki ewedde ku Lwomukaaga nga 19, October, 2024, bba teyakola era yamulekera omwana awaka bwe yali agenda ku mirimu gye.

Omusajja Seeka Swaibu, yasobola okweyambisa omukisa ogwo, ng’ali n’omwana awaka yekka, okumuyita mu nnyumba okumusobyako.

Maama yazudde ku Lwokubiri nga 22, October, 2024 nti omwana we yasobezebwako era yakizudde, bwe yali amunaaza wansi ng’ali mu bulumi.

Omwana wakati mu maziga, agamba nti Kitaawe, yamukozesa emirundi 2 ku Lwomukaaga ne ku Ssande era yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Agamba nti amangu ddala ng’amaze okumusaamu ekintu, yamulagira okunaaba era bwatyo, naddamu okumulagira okusirikira ekyama.

Maama Namanda agamba nti omwana yakebeddwa abasawo mu ddwaaliro e Rubaga n’omusawo wa Poliisi e Nsambya era bonna ne bakaanya nti ddala omwana yakozeseddwa.

Namanda, agamba nti yafuna Seeka Swaibu,  amangu ddala nga bba amaze okufa era mu bufumbo Seeka Swaib yamukkiriza okuggya n’abaana be 2.

Asabye abakulembeze bonna, okuvaayo okufuna obwenkanya kuba kiswaza bba okudda ku mwana we ate ng’omukyala waali nga ne mu kitundu kyabwe mulimu abakyala abatunda omukwano okuva ku shs 3,000.

Walugembe Mark, mukulu w’omwana eyasobezeddwako, agamba nti omusango okutambula akasoobo, balina okutya nti Poliisi eyinza okudibaga ensonga zonna.

Ate Ssentongo Charles, atwala aba Takisi mu Rubaga, asabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu kuba Seeka Swaibu tasuubirwa nti ayinza okukola ebyo.

Ssentongo agamba nti abakyala begumbulidde okweyambisa ensonga y’abasajja okusobya ku baana okubasibisa nga tebalina misango.

Ate Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kuwedde, Seeka Swaibu ali mikono gyabwe ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 8.

Onyango agamba nti essaawa yonna Seeka Swaibu agenda kutwalibwa mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=o7kf4lXGkZc