Poliisi mu ggwanga erya Equatorial Guinea erangiridde okuddayo okwekebejja amaka g’omukungu wa Gavumenti Baltasar Ebang Engonga eyakwatiddwa.
Mu Africa, Engonga kati sereebu oluvanyuma lw’obutambi okutambula ng’ali mu kaboozi n’abakyala ab’enjawulo.
Abamu ku bakyala mwe muli mwannyina wa Pulezidenti, mukyala w’omuduumizi wa Poliisi, mukyala wa mugandawe, bakyala ba mikwano gye, abakyala abakola mu bitongole eby’enjawulo n’abalala.

Baltasar Ebang Engonga

Mu kiseera kino, bangi ku bannansi bagamba bw’ekiba Engonga yali akola obwenzi, ate lwaki yali akwata obutambi nga bali mu kikolwa.
Engonga, musajja mufumbo ng’ali omukyala n’abaana era mu Equatorial Guinea, y’omu ku basajja abaweebwa ekitiibwa kuba musajja musuubuzi.
Olwa Gavumenti okunoonyereza, ssaabawolereza wa Gavumenti amuguddeko emisango egy’enjawulo omuli okuvvoola abakyala, okukola obwenzi, okuswaza n’okwonoona empisa y’ensi ng’akola obwenzi mu bakyala ab’enjawulo, okukwata obutambi era okunoonyereza kugenda mu maaso.
Mu butambi, mulimu abakyala abasukka mu 300 wabula kigambibwa abakyala abali wakati wa 400 – 500.
Abamu ku bannansi bagamba nti wadde Engonga ayinza okuba ng’alina emisango, Poliisi yakoze nsobi ate okufulumya obutambi eri bannansi.
Abalala bagamba nti obutambi bwonna bulaga nti abakyala bakulu, Engonga okukwata obutambi, baali bakimanyi era kiraga nti bakkiriza kikolebwe, kitegeeza talina musango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XATTngdD0jw