Mutabani w’omugenzi Tamale Mirundi, Tamale Junior afunye omuntu agenda okutebenkeza omutima.
Ebifaananyi biraga nti omuwala Bridget Mars Kyakuhaire akkiriza okutwala Tamale Junior mu bazadde.

Tamale amanyikiddwa nnyo ng’omuvubuka kawandula bigambo era gyebuvuddeko yagobwa mu kika ku bigambibwa nti yavvoola famire ya kitaawe.

Mu Uganda, y’omu ku bavubuka abasobodde okutunda erinnya nga bayita ku mitimbagano n’okusingira ddala ogwa U-tube.
Mu kiseera kino, kati avudde mw’abo, abalowooza nti abadde ayogeza buto kuba kati afunye omukyala Bridget Mars Kyakuhaire.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Yo7hZUp2S-U