Kkooti ya Buganda Road etanzizza omusajja Isaac Mukwaya eyakwatiibwa ku Katambi nga agezaako okutomera omuserikale owa Tulafiki mu bugenderevu.
Okunoonyereza kulaze kkooti nti nga 12 June, 2023 mu bitundu bya Kampala, Mukwaya nga yali mu mmotoka ekika kya Subaru Forester yeekola ebitajja natafa ku bantu balala beeyambisa luguudo era omuserikale bwe yavaayo okumuyimiriza, yagezaako okumutomera adduke.
Okunoonyereza era kulaze nti ekyavaako entabwe, ye muserikale okukwakkulako ‘Number Plate’ ya Mukwaya mu kumubonereza ye nayagala amutomere.
Mu kkooti, Mukwaya asoose kukkiriza musango nga ayagala aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu era omulamuazi Ronald Kayizzi namulagira asasule emitwalo nkaaga ng’ekibonerezo.
Kyokka Mukwaya era asigadde akukkuluma ng’ensimbi zino bwe ziri ennyingi okukamala nga abadde asabye omulamuzi amusalireko wabula omulamuzi nagaana.
Okusinzira ku biragiro bya kkooti, singa amala n’alemererwa okusasula ensimbi ezimulagiddwa, omulamuzi wa ddembe okuwa ekibonerezo ekirala omuli n’okusibwa ebbanga eritasukka mwaka.
Ebirala ebifa mu ggwanga si Tulafiki – https://www.youtube.com/watch?v=gI8J-wQawCM