Grace Ngabirano Akifeza, awangudde eky’omubaka omukyala ow’e Kisoro era asobodde okuwangula abantu 5.
Akifeza abadde talina kibiina oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM).
Okusinzira ku birangiriddwa akulira eby’okulonda mu kitundu ekyo Daniel Nayebare, Akifeza afunye obululu 50,459.
Rose Kabagyeni, abadde akutte kaadi y’ekibiina ki NRM, amalidde mu kyakubiri (2) n’obululu 44,982.
Zubedi Sultan Salim owa National Unity Platform (NUP) akutte kyakusatu (3) n’obululu 903.
Abalala
Mable Ingabire – Uganda People’s Congress (UPC) – 362
Juliet Musanase – Forum for Democratic Change (FDC) – 193
Chimpaye Aisha – People’s Progress Party (PPP) – 157
Ebirangiriddwa biraga nti Akifeza awangudde n’enjawulo ya bululu 5,477 ate asobodde okusinga Zubedi Sultan Salim owa NUP obululu 49,556
Grace Ngabirano Akifeza kati omulonde, agenda kudda mu bigere by’omukyala Sarah Mateke, eyali omubaka omukyala w’ekitundu ekyo.
Mateke yafa nga 7, September, 2024 era yali Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyokwerinda n’abazirwanako.
Kinajjukirwa nti mu kamyuka k’ekibiina ki NRM nga 25, October, 2024, Rose Kabagyeni yakawangula nga yafuna obululu 39,941 ate Akifeza yakwata kyakubiri (2) n’obululu 39,197.
Kabagyeni yawangula okulonda n’enjawulo ya bululu 744.
Abalala abaali mu kamyufu ka NRM kwaliko
Irene Mahirwe – 1,729
Nirere Fancy Brenda – 1,593
Winfred Faith Igiraneza – 510
Jemimah Irakunda – 363
Blessed Kitentera – 248
Hellen Mbonye – 111.
Kigambibwa akamyufu ka NRM kwalimu okubba obululu nga y’emu ku nsonga lwaki omukyala Akifeza yawakanya ebyava mu kulonda era y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okwesimbawo nga talina kibiina, okutuusa lwawangudde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cwNjeNK7q8E&t=40s