Gavumenti evuddeyo ku bigambibwa nti Dr. Kizza Besigye yawambiddwa ebitongole byokwerinda.
Enkya ya leero, mukyala wa Dr. Besigye, Winnie Byanyima atabukidde Gavumenti okuyimbula bba ate mu bwangu ddala.
Byanyima asobodde okweyambisa omukutu ogwa X, okutegeeza ensi nti bba Besigye myaka 68 yawambiddwa okuva mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi, gye yabadde agenze okwetaba ku mikolo gy’okutongoza ekitabo ekyawandikiddwa omukyala Martha Karua.

Martha Karua

Martha Karua y’omu ku bakulembeze ku ludda oluvuganya Gavumenti mu ggwanga lya Kenya.
Agamba nti afunye amawulire agalaga nti Besigye ali mu kkomera ly’amaggye mu Kampala.
Alabudde nti nga famire ssaako ne bannamateeka, balagidde Gavumenti okuyimbula Besigye ate mu bwangu ddala.
Byanyima agamba nti Besigye si munnamaggye lwaki atwalibwa mu kkomera ly’amaggye?

Winnie Byanyima


Mu bigambo bye, agambye nti, “I request the govt of Uganda to release my husband Dr Kizza Besigye from where he is being held immediately. He was kidnapped last Saturday while he was in Nairobi for Hon Martha Karua’s book launch. I am now reliably informed that he is in a military jail in Kampala. We his family and his lawyers demand to see him. He is not a soldier. Why is he being held in a military jail?

Dr. Chris Baryomunsi

Wabula Minisita w’ebyamawulire n’okulung’amya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo ku nsonga y’okuwamba Besigye.
Dr. Chris Baryomunsi agamba nti bwe kiba Besigye yakwatiddwa, kabonero akalaga nti alina omusango.
Baryomunsi asabye bannayuganda okulinda ebitongole by’okwerinda nga bwe kiba kituufu Besigye yakwatiddwa, essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti.
Agamba nti tewali muntu yenna akwatiddwa ebitongole byokwerinda nga talina musango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=pqeOBgjlnnE