Mukyala wa Dr. Kizza Besigye, Winnie Byanyima atabukidde Gavumenti okuyimbula bba ate mu bwangu ddala.
Byanyima Direkita wa Unaids asobodde okweyambisa omukutu ogwa X, okutegeeza nti bba Besigye myaka 68 yawambiddwa okuva mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi, gye yabadde agenze okwetaba ku mikolo gy’okutongoza ekitabo ekyawandikiddwa omukyala Martha Karua.

Winnie Byanyima

Agamba nti afunye amawulire agalaga nti Besigye ali mu kkomera ly’amaggye mu Kampala.
Alabudde nti nga famire ssaako ne bannamateeka, balagidde Gavumenti okuyimbula Besigye ate mu bwangu ddala.
Byanyima agamba nti Besigye si munnamaggye lwaki atwalibwa mu kkomera ly’amaggye?
Mu bigambo bye, agambye nti, “I request the govt of Uganda to release my husband Dr Kizza Besigye from where he is being held immediately. He was kidnapped last Saturday while he was in Nairobi for Hon Martha Karua’s book launch. I am now reliably informed that he is in a military jail in Kampala. We his family and his lawyers demand to see him. He is not a soldier. Why is he being held in a military jail?”.
Besigye yakavuganya ku bwa Pulezidenti emirundi 4 ku kaadi y’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), okwagala okutwala obuyinza wabula emirundi gyonna, abadde awangulwa Yoweri Kaguta Museveni – https://www.youtube.com/watch?v=pqeOBgjlnnE