Omuvubuka Arafat amanyikiddwa nga Fire King ku Tiktok asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 2 bw’asimbiddwa mu kkooti e Matugga.

King Fire myaka 19 nga mutuuze we Lumuli Cell, Kagoma mu disitulikiti y’e Wakiso yakwatiddwa ku misango gy’okutambuza obulimba n’okuswaza abantu.

Abadde asukkiridde okweyambisa omukutu ogwa Tiktok okutegeeza ensi nti yakuba Sylvia Namutebi amanyikiddwa nga Maama Fiina amatooke.

Maama Fiina yasobodde okweyambisa abantu ab’enjawulo okunoonya King Fire omuli n’okweyambisa bajjajja.

King Fire nga yava Jinja wakati mu maziga, asabye Maama Fiina ekisonyiwo kuba yakikola mu butamanya.

Agamba nti yakikola kunoonya ‘Likes’ era wadde yasabye okusonyiyibwa, yasibiddwa emyaka 2.

King Fire y’omu ku bavubuka abasinga okwagala ennyimba za Alien Skin.

Asindikiddwa mu kkomera nga n’omuyimbi we Alien Skin naye asindikiddwa e Luzira ku misango gy’obubbi.

Kigambibwa nga 28, September, 2024 ng’ali e Makindye, Kampala Alien yeenyigira mu kubba.

Yabba essimu ya Mubiru Salim ekika kya Iphone 15 PRO nga yali ya Bulaaka nga yali ebalibwamu shs 3.5M, yabba ssente 480,000 ne Wallet omwali National ID n’ebirala.

Mu kkooti e Makindye mu maaso g’omulamuzi Esther Adikini, Alien Skin yasindikiddwa ku Limanda e Luzira okutuusa nga 9, December, 2024.