Ebya Kisaka, Luyimbazi ne Okello tebinaggwa

Abaali abakulembeze mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA), enkya ya leero baddamu okweyanjula mu kkooti e Kasangati, okutegeera webatuuse mu kunoonyereza ku misango egibavunaanibwa.

Bano okuli

– Eyali ssenkulu w’ekitongole ki KCCA Doroth Kisaka

– Eyali omumyuka we David Luyimbazi

– Eyali akulira eby’obulamu Daniel Okello

Bonna basatu (3) bakwatibwa oluvanyuma lw’enjega eyagwa e Kiteezi nga 10, August, 2024, omwafiira abantu abasukka 30.

Mu kkooti, bagulwako emisango gy’okuviirako abantu abo okufa olw’obulagajjavu wakati wa July, 2020 – August, 10, 2024 wadde emisango gyonna mu kkooti, bagyegaana.

Kisaka, Luyimbazi ne Okello, bayimbulwa dda, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kasangati Beatrice Kainza, ku ssente obukadde 5 ez’obuliwo nga oludda oluwaabi, bwerugenda maaso n’okunoonyereza.

Abavunaanibwa enkya ya leero, baddayo mu kkooti e Kasangati, okutegezebwa oludda oluwaabi, webatuuse mu kunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8-3CklEa_c4