Kkooti ya Buganda Raod efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye era eyali amyuka RCC wa Rubaga Herbert Anderson Burora.
Omulamuzi Ronald Kayizzi afulumizza ekibaluwa oluvanyuma lwa Burora obutalabikako mu kkooti enkya ya leero.
Burora ali ku misango egy’okutambuza amawulire ag’obulimba omuli ebigambo ebisiiga obukyayi n’okusiiga sipiika wa Palamenti Anita Among enziro ng’ayita ku mukutu ogwa X okugamba nti sipiika Among mukyala mutemu, muwambi w’abantu, muli wa nguzi, ebigambo ebityoboola ekitiibwa kya sipiika.
Mu Palamenti, omulamuzi Kayizzi agambye nti Anderson Burora obutabaawo ne bannamateeka bonna, y’emu ku nsonga lwaki alagiddwa bamunoonye akwatibwe.
Omulamuzi ayongezaayo okutuusa 7, January, 2025 nga ku lunnaku olwo, Burora asuubirwa mu kkooti.
Okunoonyereza kulaga nti Burora yazza emisango egyo wakati wa March, 2024 – June, 2024 mu bitundu bya Kampala.