Dr. Col Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, boolekedde okumala ebbanga eriwerako nga bali ku limanda mu kkomera e Luzira.

Abakwate, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu, amasasi ssaako n’okutekateeka, okutaataganya ebyokwerinda nga bakwatibwa mu ggwanga erya Kenya,  bwe yali agenze okwetaba ku mukolo gw’okutongoza ekitaba kya munnabyabufuzi Martha Karua.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, basindikiddwa ku limanda kkooti y’amaggye okutuusa nga 7, Janwali, 2025 nga kivudde ku ludda  oluwawabirwa, okulemerako nti omusango okugenda mu maaso, munnamateeka Martha Karua okuva mu ggwanga erya Kenya eyali ayise Besigye, alina okufuna layisinsi ey’ekiseera, emukkiriza okukola obw’amateeka mu Uganda.

Wabula akakiiko k’ebyamateeka nga kakulembeddwamu omulamuzi Irene Mulyagonja, bagaanye okuwa Martha Karua layisinsi nga baawadde ensonga 9.

Ezimu ku nsonga kuliko obabusaabusa n’empisa ze nga Martha Karua nga bagamba bwe yali ne bannamateeka abalala okuli Erias Lukwago ne balumba ekitebe ky’essiga eddamuzi mu Kampala wiiki ewedde, kyali kimenya mateeka.

Mungeri y’emu bagamba nti ali mu kuzannya eby’obufuzi, okumuwa ebbaluwa sikyabuwaze, Besigye ne Lutale balina bannamateeka bangi nga talina kipya kyayinza kuleeta mu kkooti ssaako n’ensonga endala.

Wabula wadde balemeddeko okulaba nga Martha Karua afuna layisinsi, amyuka Ssaabawolereza wa gavumenti, Jackson Kafuuzi avuddemu omwasi ku nsonga ezo.

Kafuuzi agamba nti akakiiko ky’ebyamateeka tewali muntu yenna alina kawa biragiro ku nsonga yonna, nga kalina okuwa ensala yaako oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Mungeri y’emu agamba nti okugaana okuwa Martha Karua layisinsi, kabonero akalaga nti balina ensonga enkulu.

Ate ng’omuwabuzi wa Gavumenti ku nsonga z’amateeka, ku nsonga y’okutwala Besigye ne Lutale mu kkooti y’amaggye, abyesambye era agamba nti tasobola kuwa ndowooza ye ku nsonga eziri mu kkooti.

Okubyogera, abadde yakava mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga abali mu East Africa okubaako ensonga zataanya. Wabula bino byonna biraga nti Besigye ne Lutale bayinza okuwangalira ku limanda olwa bannamateeka okulemerako ku nsonga za Martha Karua okuweebwa layisinsi – https://www.youtube.com/watch?v=JzzKY2u9ZgY