Kaminsona wa palamenti era omubaka wa Nyendo-Mukungwe, Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo ku nsonga y’okusembeza omuyimbi Mulwana Patrick amanyikiddwa nga Alien Skin mu kisinde kya Democratic Alliance.
Ekisinde ki Democratic Alliance (DA), kyatongozeddwa okutambula eggwanga lyonna, okuleeta abantu bonna abalina ekigendererwa ky’okukyusa obuyinza mu ggwanga lino.
Mu kutongozebwa, Mpuuga yasobodde okutta omukago ne Alien Skin era bangi ku bantu bagamba nti Mpuuga yaleese Alien Skin okufuna amaanyi okulwanyisa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).
Wabula bw’abadde awayamu naffe, Mpuuga agamba nti ekisinde ki DA si kibiina kya kyabufuzi wabula okwaniriza abantu bonna abalowooza nti betaaga enkyukakyuka mu ggwanga lino.
Ku nsonga ya Alien Skin, Mpuuga agamba nti abantu balina okutegeera abantu nga Alien Skin kuba ng’abantu bafunye ebizibu bingi era betaaga okuyambibwa.
Mathias Mpuuga agamba nti ng’omukulembeze, alina okubasembeza kuba bannayuganda, bavubuka bato, balina ebitone, balina ebizibu omuli okunywa ebiragalalagala kyokka bangi ku bakulembeze balemeddwa okubawa omukisa.
Mungeri y’emu agamba nti ng’omukulembeze yavuddeyo okuyamba wabula si kulwanyisa muntu yenna.

Eddoboozi lya Mpuuga

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CxQyn2InfcE