Poliisi eyongedde ebikwekweeto okukwata abantu abagambibwa okwenyigira okutta eyabadde omukozi ku Yunivasite e Kyambogo mu Dipatimenti ya Kompyuta Jacob Ankasasira eyabadde avudde mu loogi
Okunoonyereza kulaga nti Jacob Ankasasira myaka 40, yattiddwa abantu mu Kigambo Ghetto, e Namugongo ku bigambibwa nti yali mubi.
Wiiki ewedde ku Lwokutaano, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, yategeeza nti Poliisi y’e Kira eri mu kunoonyereza okuzuula abantu bonna, abaali mu kikolwa ky’okutta Ankasasira.
Okunoonyereza kulaga nti nga 30, November, 2024, Ankasasira ne mukyala we Catherine Kansiime basula mu loogi e Kyebando, Kampala.
Enkera, yava mu loogi okugenda okugula amata era bwatyo teyasobola dda mu loogi mwe yali alina okusula.
Nga 2, December, 2024, omu ku batuuze Chrispus Ainembabazi yategeeza Kansiime nti muganzi we Ankasasira yali akubiddwa nnyo okumpi n’ekiggwa ky’abajjulizi e Namugongo era yali mu mbeera mbi nnyo.
Poliisi mu bwangu ddala yayitibwa era yatwala Ankasasira mu kalwaliro ka Angelina Medical center kyokka oluvanyuma yasindikibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Nga 11, December, 2024, Ankasasira yafiira mu ddwaaliro e Mulago.
Eddwaaliro ligamba nti yafa olw’ebiwundu ebingi bye yafuna ku mutwe bwe yakubwa.
Mu kusooka, muganzi we Kasiime yali akwatiddwa ku bigambibwa nti yali mu lukwe lw’okutta Ankasasira, wabula yayimbulwa kakalu ka Poliisi.
Kigambibwa omugenzi Ankasasira yalina obutakaanya ne famire ku nsonga z’ettaka ate yali asukkiridde okunywa omwenge nga byonna bigenda kuyambako mu kunoonyereza.
Wadde mu kusooka Poliisi yali yakwata abantu babiri (2), olunnaku olw’eggulo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke yasobodde okutegeeza eggwanga nti kati balina mu kaduukulu ka Poliisi abantu 4 abateeberezebwa okwenyigira mu kutta Ankasasira.
Ebingi ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CxQyn2InfcE