Abasuubuzi wali ku Makerere Ku Bbiri, basigadde mu maziga olw’omuliro ogusanyizaawo emmaali yaabwe yonna.
Omuliro gusanyizaawo emmotoka eziri mu 14 nga zonna zibadde mu Galagi, abatunda ebibajje, bingi bisanyiziddwawo.
Omuliro gubadde, emabega w’ekizimbe ki Crown House ku luguudo lwa Bombo Road ku bbiri mu zzooni ya Mukwenda, muluka gwa Makerere 1, Kampala.
Poliisi wetuukidde nga gweyongedde okusasaana era basobodde ogutangira, okuyingira mu nju z’abatuuze abali okumpi.
Ekifo ekiyidde, mukoleramu abasuubuzi ab’enjawulo omuli n’abatunga engoye, era akigambibwa gutandiise ssaawa nga 10 ez’ekiro.
Abamu ku batuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Juma Kawuma bagamba nti omuliro, guteeberezebwa nti guvudde ku butakaanya wakati w’abakozi, abakolera mu kifo ekyo abasukka mu 100, era bafiiriddwa ebintu ebiri mu bukadde 600.
Bagamba nti ng’abasuubuzi mu kifo, balina omukyala Ruth Nakakaawa, ssentebe wa SACCO yaabwe, mwebaludde nga bateeka ssente, zebalina okugabana buli Desemba, okuyita mu nnaku nkulu era akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 18, December, 2024, baabadde basubira okubawa ssente zaabwe, okuzibagana nga basuubira ziri mu bukadde 15 – 20.
Wabula ssentebe Nakakaawa yalemeddwa okuleeta ssente, ekyatabudde embeera era Poliisi yabiyingiddemu, okutebenkeza ebyokwerinda wakati mu basuubuzi okwekalakaasa. Kigambibwa, embeera ya ssente okubuzibwawo, eyinza okuba emu ku nsonga, evuddeko omuliro, kwekusaba Poliisi okunoonyereza ennyo – https://www.youtube.com/watch?v=zA2T4BZumVY&t=2s