Kyaddaki Maneja w’omuyimbi Victor Ruz, Mugerwa Joseph amanyikiddwa nga Zamba akooye okulya omwana wabandi ku banja era avuddeyo okulaga nti ddala kati musajja alina okufuna omuntu w’okulya ebbanga lyonna.

Victor Ruz ku mukolo

Zamba abadde alina omukyala Kamugume Aidah naye ebbanga lyonna abadde amusakata waya ku banja, anti yamusanga mu Kampala nga taliko agamba.

Wabula nga 14, December, 2024, omuwala Aidah yasobodde okutwala  Zamba eri Ssenga okukyala  e Makerere era essaawa yonna amutwala mu bazadde, aveeyo mu butongole okusinga okulinda okugwamu ssupu.

Zamba agamba nti asobodde okusamba emipiira egy’enjawulo naye Aidah muwala wanjawulo nnyo era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okumwawula ku bawala abalala abayaaye abali mu Kampala abalidde ssente ze okumala ebbanga naye nga tewali kumukomyako.

Ng’omuntu omulala yenna, alina essuubi okugenda mu bazadde b’omuwala mu butongole mu February, 2025 ate mu March, 2025, amukube embaga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=1s