Omwana 2024, Dj Nimrod ayongedde okulaga nti ddala musajja wanjawulo nnyo ku balala mu kisaawe ky’okukuba omuziki.

Kinajjukirwa nti nga 12, December, 2024, Dj Nimrod yasobodde okukiika e Mmengo era yasobodde okugula satifikeeti, okuwagira emirimu gy’obwa Kabaka mu mbeera yonna.

DJ Nimrod yaguze satifikeeti

Ku mukolo ogwali mu bimuli bya Bulange, Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga yasobodde okusaba ba DJ abato, okulabira ku Dj Nimrod okuba n’empisa, nga bakuba ennyimba ennungi.

Katikkiro Mayiga agamba nti ennyimba eziwemula, abantu balina okuzewala, kwe kusaba DJ Nimrod obutava ku mulamwa kuba y’omu ku ba DJ abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.

DJ Nimrod yali Mengo

DJ Nimrod okugenda e Mmengo, kabonero akalaga nti musajja awagira ensonga z’obuwangwa era muntu wanjawulo nnyo.

Amazima gali nti mu Uganda, DJ Nimrod y’omu ku ba DJ abakoze ekinene mu kutambuza endongo mu Uganda yonna n’ensi z’ebweru.

Agamba nti Katikkiro wadde musajja munnamateeka, ate mukwano gwe nnyo nga y’emu ku nsonga lwaki asobola okumwawula ku bantu abalala.

Uganda, erina ba DJ abasukka mu 10,000 wabula okukola erinnya sikyangu kyokka DJ Nimrod asobodde okukikola n’okukuuma erinnya lye emyaka egisukka 20 ng’akuba omuziki.

DJ Nimrod mukozi ku 100.2 Galaxy FM/TV ng’akola emirimu egy’enjawulo omuli okuweereza ku ladiyo mu Evening Rush –