Poliisi mu Kampala eri mu kunoonya omuserika ateeberezebwa okuba omu ku bakuuma ab’ebitiibwa mu ggwanga atwalibwe mu kkooti ku misango gy’okutta omuntu.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, omusirikale yakubye essasi ddereeva w’emmotoka eneetisi y’emigugu ekika kya Townace nnamba UAX 480C eryamuttiddewo okumpi ne woteri ya Sheraton mu Kampala ku Kintu Road.
Kigambibwa omusirikale yabadde kabangali ya Poliisi, kwekusaba ddereeva wa Townace okudda ebbali kyokka bwe yagaanye kuba ekkubo nga mujjudde bodaboda, omusirikale kwekuva ku kabangali namukuba essasi era yafiiriddewo.
Oluvanyuma lw’okutta ddereeva, yafunye bodaboda okudduka okwetangira okumutusaako obulabe ne basirikale banne okumukwata.
Kati no wakati mu kunoonyereza, Poliisi eriko byezudde mu bwangu.
Poliisi ezudde nti omusirikale wadde yadduse, ayitibwa PC Bahati Charles No 55915 ate ddereeva eyattiddwa Ssemwaka Julius. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, Poliisi etaddewo akakiiko ak’enjawulo, okunoonya omusirikale waabwe PC Bahati akwatibwe ku misango gy’okutta omuntu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo