Kikiino ekirwadde ekikambwe ekibala Dr Jose Chameleone embiriizi
Oluvanyuma lw’ennaku 11 ng’ali mu ddwaaliro e Nakasero, Dr Jose Chameleone yasiibuddwa olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Amangu ddala ng’avudde mu ddwaaliro, yatwaliddwa butereevu ku kisaawe e Ntebe, okutwalibwa mu ggwanga lya America okufuna obujanjabi.
Dr Jose Chameleone yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Allina Mercy Hospital mu ssaza lya Minnesota mu America.
Mu America, agenda kufuna obujanjabi oluvanyuma awumule okumala emyezi 3, asobole okuwona obulungi era kigambibwa ayinza okumala mu America emyezi egiri 6.
Ku kisaawe e Ntebe, yatuuse nga famire yonna emulinze omuli kitaawe Gerald Mayanja, nnyina Proscovia Musoke, Pallaso n’abalala.
Mu ggwanga lya America, Dr. Chameleone yagenze ne mutoowe Weasel Manizo okumujanjaba.
Kigambibwa Dr. Chameleone alina obulwadde bw’akataago n’endwadde endala nga y’emu ku nsonga lwaki yatwaliddwa mu America okufuna obujanjabi.
Agawulire galaga nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasuubiza okusasula ssente zonna ez’eddwaaliro e Nakasero kuba Dr. Chameleone akoze kinene okutunda eggwanga ng’ayita mu kisaawe ky’okuyimba.
Dr. Chameleone yazaalibwa nga 30, April, 1979 ng’alina emyaka 45.
Kigambibwa yafuna obutakaanya ne mukyala we Daniella Mayanja era omukyala kwekuddukira mu ggwanga lya America.
Alina abaana okuli Abba Marcus Mayanja, Amma Christian Mayanja, Alba Shyne Mayanja, Alfa Joseph Mayanja, Ayla Onsea Mayanja n’abalala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo