Poliisi e Serere eri mu kunoonya endiga, eyasambye pasita wa Pentecostal Assemblies of God (PAG), ekyavuddeko okufa kwe.
Pasita John Micheal Ekamu myaka 52 nga mutuuze ku kyalo Osokotoit mu ggoombolola y’e Kateta e Kasese, wakati mu kusabira endiga etegerekeseeko erya Osagani, endiga yamukubye tteke wakati mu kwefuula alinyiddwako emizimu.
Endiga Osagani ng’eri mu myaka 30 n’omutabani Simon Ogwang nga batuuze ku kyalo Mutebe mu ggoombolola y’e Kateta, mu kiseera kino baliira ku nsiko.
Kigambibwa endiga Osagani, olwasambye Pasita, emizimu negidduka naye kwekudduka nga mu kiseera kino ali ku misango gya butemu.
Okunoonyereza, kulaga nti Pasita yali mu kusabira abantu ku Lwokubiri ekiro nga 24, December, 2024 ku ssaawa nga 5 mu kkanisa ye ku kyalo Ocuko mu ggoombolola y’e Kateta.
Okunoonyereza era kulaga nti Pasita Ekamu yagaanye okumutwala mu ddwaaliro nti sitaani yabadde awanguddwa wabula obulumi bweyongedde era okumutuusa mu ddwaaliro lya Serere Health Center IV, okumwekebejja, kwekuzuula nti yabadde akoseddwa nnyo akataago olwa tteke eyamukubiddwa wakati ng’agoba emizimu.
Galaxy TV bw’ebadde ewayamu ne RPC wa East Kyoga, Damalie Nachuha agamba nti okunoonya Osagani kuli mu ggiya nnene. Wadde omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Soroti okwekebejjebwa, tekimanyiddwa oba ddala Osagani yabaddeko emizimu oba nedda – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo&t=3s