Okunoonyereza kweyongedde mu ggwanga erya South Korea okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje k’ennyonyi.

Ennyonyi okuva mu Kkampuni ya Jeju Air flight 7C 2216, ekika kya Boeing 737-800, yabadde ava mu kibuga Bangkok mu ggwanga erya Thailand, yafunye akabenje nga yakatuuka mu ggwanga erya South Korea era yatomedde ekisenge ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Muan international airport mu bukiika ddyo bw’eggwanga eryo erya South Korea.

Mu nnyonyi, mwabaddemu abantu 181 wabula 179 bafiiriddemu ng’abantu 2 bokka bebataasiddwa.

South Korea yali yakoma okufuna akabenje k’ennyonyi okutta abantu abangi mu 1997, ennyonyi ya Boeing 747 okuva mu Kkampuni  ya Korean Airlines bwe yafuna akabenje netta abantu 228.

Okunoonyereza kulaga nti ennyonyi yabaddemu abasaabaze 175 n’abakozi 6 nga mulimu abasajja 84, abakyala 85 n’abantu abalala 10 ekikula kyabwe tekimanyiddwa.

Ate abantu basimattuse 2 babadde bakozi mu nnyonyi nga kuliko omusajja n’omukyala.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa kituufu ekyavuddeko akabenje wabula abakugu baliko ensonga ez’enjawulo zebali mu kwekeneenya omuli

– Ku ggiya eyamba ennyonyi okukka obulungi okufuna obuzibu

– Ebinyonyi ebiri okumpi n’ekisaawe

– Embeera y’obudde

Mu ggwanga erya South Korea, ennyonyi ekika kya Boeing 737-800 y’emu kwezo zebasinga okweyambisa mu ggwanga eryo.

Abakugu abali mu kunoonyereza bagamba nti akabookizi akakuuma amaloboozi aka black box kazuuliddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dPX3sYYwxqw