Bannansi mu ggwanga erya America bakyali mu kungubaga olw’okufa kwa James Earl Carter Jr.
James Earl Carter Jr yali Pulezidenti wa America owa 39 okuva mu 1977 – 1981 mu kibina ki Democratic Party.
Mu byafaayo bya America, Carter ye Pulezidenti asinze okuwangaala oluvanyuma lw’okufiira ku myaka 100 nga yasobola okuyisa ebyafaayo bya George H.W. Bush mu March 2019 ate abadde Pulezidenti asoose okuweza emyaka 100.

James Earl Carter Jr


Yazaalibwa nga 1, October, 1924 nga yafudde nga 29, December, 2024 mu Plains, Georgia, America.
Yali mu ntebe ya America okuva nga January 20, 1977 – January 20, 1981.
Mukyala wa Carter, Rosalynn yafa mu November, 2023 era yali ne bba mu bufumbo emyaka 77.
Agava mu America galaga nti abadde waka mu mikono gy’abasawo okuva mu February 2023 oluvanyuma lw’okugibwa mu ddwaaliro.
Oluvanyuma lw’okufa, Pulezidenti wa America Joe Biden agambye nti ensi yonna efiiriddwa omuntu ow’enkizo, abadde yebuzibwako abadde alina amagezi ku nsonga ez’enjawulo.
Ate Pulezidenti wa America omulonde, Donald Trump, asabye bannansi mu America n’ensi yonna okuteeka famire ya Carter mu ssaala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=dPX3sYYwxqw