Omukyala Tumuhirwe Precious eyalabikidde mu Katambi ng’atulugunya omwana, aguddwako emisango 2.

Omukyala Tumuhirwe myaka 35, yakwatiddwa ku by’okutulugunya omwana Tumwekwase Claire myaka 4.

Tumuhirwe, yatulugunya omwana mu kiro ky’olwokutaano, nga 27, December, 2024 mu zzooni y’e Kikoko – Namataba Cell mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso era akatambi, kabadde katambula ku mikutu migatta bantu omuli WhatsApp.

Mu kiseera kino, omwana ali mu ddwaaliro e Nsambya, okufuna obujanjabi.

Webwazibidde akawungeezi k’olunnaku olwa ku Ssande nga 29, December, 2024, ng’omukyala Tumuhirwe, Poliisi e Kabale eri mu kumuzza mu Kampala wali ku Poliisi y’e Kira, etwala ekitundu mwe yaddiza emisango.

Wabula Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Tumuhirwe, aguddwako emisango 2 omuli

Ogw’okwagala okutta omuntu n’okutulugunya omwana okusukkiridde.

Rusoke agamba nti entekateeka zitandise era essaawa yonna, Tumuhirwe bamutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=5s