Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde bannayuganda okweyambisa okulonda okubindabinda okwa 2026, okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino Uganda.

Kyagulanyi, bw’abadde ayogerako eri eggwanga lino ng’asinzira mu makaage e Magere mu disitulikiti y’e Wakiso, anokoddeyo ebizibu, ebyongedde okusanikira eggwanga lino omuli

– Okuwamba abantu

– Gavumenti okutambulira mu kwewola ssente ku buli nsonga yonna

– Amakkomera okujjula abantu baabwe nga tebalina misango

– Obuli bw’enguzi n’okusingira ddala mu Palamenti y’eggwanga

– Okutyoboola eddembe ly’obuntu kweyongedde ennyo

– Okudibaga eby’obulimi nga baggyawo ekitongole ky’emwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA)

– Ekitta abantu okweyongera, n’ebirala nga byonna biraga nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu.

Kyagulanyi agamba nti tewali kubusabuusa kwonna, agenda kuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2026 kuba yetaaga obukulembeze bw’eggwanga lino.

Mu kulonda kwa 2021, Yoweri Kaguta Museveni owa National Resistance Movement (NRM) yawangula okulonda.

Museveni yafuna obululu 6,042,898 (58.38 ku 100) ate Kyagulanyi yafuna obululu 3,631,437 (35.08 ku 100) era yakwata kyakubiri.

Akalulu mwalimu abantu 11 nga Forum for Democratic Change (FDC)  yaleeta Patrick Amuriat era yakwata kyakusatu n’obululu 337,589 (3.26).

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=9wfNFN5ToGo