Omukyala Reginah Namande, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Butuntumula ku misango gy’okutta bba Charles Bunjo, eyabadde myaka 54.
Namande, nga mutuuze ku kyalo Kyamufumba mu ggoombolola y’e Butuntumula, yakwatiddwa ku ‘ boxing day’ nga 26, December, 2024 oluvanyuma lw’okuba bba Bunjo, ejinja ku kabutobuto, ekyavuddeko okufa kwe.
Obutakaanya, bwavudde ku Namande okuba mu laavu n’abasajja ab’enjawulo omuli Emma Kyalufenge, omu ku batuuze ku kyalo.
Wabula ku lunnaku lwattibwa, yali yakamala okulemesa omukyala Namande okwesa empiki bwe yagoba muganzi we Emma Kyalufenge n’ejjambiya eyali yakatuuka awaka ate nga yali yamulinze dda.
Embeera yonna, yatabula omukyala Namande era yamukuba ejinja ku kabutobuto.
Wabula omulamuzi wa kkooti esookerwako e Luweero Christopher Tindyebwa asindise omukyala Namande ku limanda okutuusa nga 23, January, 2025.
Namande ali ku misango gy’okutta omuntu – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=5s