Omuwendo gw’abantu abafudde olw’akabenje mu disitulikiti y’e Kyenjojo gweyongedde nga kati bali 14.
Akabenje kabaddewo ku Lwokusatu nga 1, January, 2025 mu katawuni k’e Ngezi era abantu 10 bafiiriddewo, ate 22 baddusiddwa malwaliro nga bali mu mbeera embi.
Akabenje kabaddemu emmotoka 2, takisi namba UBR 800S eyabadde eva e Fort Portal okudda mu Kampala bwe yayingiridde takisi endala UBK 017N eyabadde eva Kampala okudda e Fort Portal.
Poliisi egamba nti akabenje kaavudde ku takisi namba UBK 017K okuvugisa ekimama.
Okusinzira ku Vicent Twesige, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori, olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, abantu 4 bafiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Fort Portal.
Abamu ku bafiiridde mu ddwaaliro kuliko Daphine Kembabazi omutuuze we Kyenjojo, Suzan Kamukama, Steven Musiromu, Pascal Kasaija ne Monica Kabarwani.
Kinajjukirwa nti mu August, 2024 mu kifo kye kimu, waliwo akabenje ka bbaasi ne Takisi era abantu 10 bafiirawo.
Bbaasi yali ya kampuni ya Pokopoko nga yali eva Kampala nga yayingirira takisi eyali eva Fort Portal okudda mu Kampala.
Okunoonyereza kwa Poliisi kwalaga nti ddereeva wa Takisi emmotoka yamulemerera kwekuyingirira bbaasi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=5s