Omukyala, omukozi w’awaka Tumuhirwe Precious asindikiddwa mu kkomera e Luzira okumala emyaka 40.
Tumuhirwe myaka 35, yakwatibwa ku by’okutulugunya omwana Tumwekwase Claire myaka 4.
Tumuhirwe, yatulugunya omwana mu kiro ky’olwokutaano, nga 27, December, 2024 mu zzooni y’e Kikoko – Namataba Cell mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso era akatambi ne kafuluma ku mikutu migata bantu omuli WhatsApp.
Tumuhirwe, yakwatiddwa Poliisi y’e Kabale ne bamuzza mu Kampala wali ku Poliisi y’e Kira, etwala ekitundu mwe yaddiza emisango.
Enkya ya leero, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kira, Shallon Niwaha era bwatyo, akkiriza emisango gyonna kyokka nasaba ekibonerezo kuba alina omwana omuto myaka 8, gw’alina okulabirira.
Tumuhirwe asibiddwa emyaka 40 gyokka oluvanyuma lw’okutegeeza omulamuzi nti gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango ate yabadde alabirira abaana bonna.
ekisamusaamuTumuhirwe asindikiddwa e Luzira okumala emyaka 40 newankubadde emisango gye yazza, abadde ayinza okusibwa mayisa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SpsKggdyjy0