Poliisi etandiise okunoonyereza ku by’okulumba amaka g’omuyimbi Mulwana Patrick amanyikiddwa nga Alien Skin olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 2, January, 2025.
Kigambibwa, omuyimbi Pallaso yakulembeddemu banne ne balumba amaka ga Alien Skin ne bonoona ebintu eby’enjawulo omuli emmotoka eziri mu 5 n’okwasa endabirwamu z’ennyumba.
Kigambibwa Pallaso n’abavubuka balumbye nga bakutte ejjambiya, emiggo n’amafuta okwokya emmotoka.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Onyango agamba nti mu sitetimenti ya Alien Skin ku Poliisi alaga nti yabiddwako ssente obukadde 6.
Onyango agamba nti kati banoonyereza ku misango 2 omuli okwonoona ebintu n’okubba ssente.
Mu kiseera kino okunoonyereza kulaga nti Pallaso yalumbye Alien Skin oluvanyuma lw’okumukolako effujjo bwe yabadde mu kivvulu e Buloba
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=5s