Aba National Culture Forum, bakaanyiza wamu, Pallaso ne Alien Skin, okubagulako emisango era bayisizza ebiragiro 13
Bano nga basinzira wali ku National Theatre ku kitebe kya National Culture Forum, bagamba nti ekimala kimala, kati ye ssaawa okutereeza endoogo ya Uganda.
Ebiragiro ebiyisiddwa kuliko
- Baweze abayimbi abo, okumala emyezi 6
- Bannayini bifo, basabiddwa obutakiriza bayimbi abo, kuyimbira mu bifo byabwe.
- Baweze eky’abayimbi bonna okumala gayingira ekivvulu nga tebakebeddwa
- Buli muyimbi alina okuggya n’abantu 4 bokka.
- Poliisi okuyambako okukwata abantu bonna abaavuddeko embeera y’okulwana ku ludda lwa Pallaso ne Alien Skin
- Eggaali zonna ziwereddwa mu bayimbi
- Basabye abantu abaakosebwa, okugenda ku Poliisi okukola sitetimenti
- Ekibiina ekitwala Bakanyama, okuwandikira IGP ku nsonga y’okunoonya abakola effujjo
- Abayimbi balina okufuna obukuumi obumanyiddwa okuva mu kibiina kya Bakanyama
- Abategesesi b’ebivvulu, okuwa abayimbi obukuumi
- Omuyimbi oba MC, singa akuma omuliro mu bantu ng’ali ku siteegi, alina okuyimirizibwa mu bwangu ddala
- Bakanyama basabiddwa okukwata obutambi, okufuna obujjulizi bwa Poliisi
13. Abayimbi oba ba MC okuweebwa endagaano nga bakaanya nti tebalina kwenyigira mu buseegu wadde okukola effujjo ssaako n’okulaga essaawa za buli muyimbi, zalina okuyimbirako.
Mu nsisinkano, balangiridde nti ebiragiro ebyo, bigenda kutandikirawo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=T83OT3tdV7A