Waya ya Eron Kiiza eri mu maziga, yakumala emyezi 9 nga terabye ku ssanyu
Okuwumulira omusango gwa Dr. Col. Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, kwongezeddwaayo wali mu kkooti y’amaggye e Makindye.
Abasibe batuusiddwa nga zigenda mu ssaawa 3 ez’okumakya, wabula mu kusooka, abamu ku bannamateeka ba Besigye ne Hajji Lutale, babadde bagaaniddwa okuyingira ssaako ne mikwano gya Besigye, ekivuddeko okuyimbira abasirikale obuyimba wakati mu kusikasika ggeeti.
Oluvanyuma lw’essaawa eziwerako nga bakiriziddwa okuyingira, ate munnateeka wa Besigye, Eron Kiiza akwatiddwa.
Okukwatibwa, ayingidde mu kkooti kyokka nagaanibwa okutuula mu kifo, kyabadde ayagala okutuulamu, ekivuddeko embeera okusajjuka.
Oluvanyuma lw’eddakika, embeera ezze mu nteeka era kkooti kwekuddamu okutuula.
Wabula munnamateeka w’abasibe, munnakenya Martha Karua atandikidde mu ggiya emirimu gye n’okwemulugunya ku nneyisa ya kkooti wakati mu kkooti okumulabula okukomya okuyita kkooti y’amaggye, akakiiko k’empisa ak’amaggye.
Wabula bannamateeka, balemeddeko nti omusango okugenda mu maaso, munnamateeka munaabwe Eron Kiiza, alina okuba mu kkooti n’okutegeera bw’aba musibe, ali ku misango ki?
Oluvanyuma bongezaayo omusango gwa Besigye ne Hajji Lutale okutuusa wiiki ejja ku Mmande nga 13, Janaury, 2025.
Wabula ate munnamateeka Kiiza, asindikiddwa mu kkomera e Kitalya okumala emyezi 9 lwa kuzimuula kkooti n’okugiyisaamu amaaso (Contempt of Court).
Bannamateeka mu kkooti nga bakulembeddwamu Martha Karua, Ssalongo Erias Lukwago, Samuel Muyizzi Mulindwa n’abalala bagamba nti bagenda kujjulira, okuwakanya ebisaliddwawo kkooti, munnamateeka Kiiza okusibwa ebbanga lya myezi 9.
Ebirala ebifa mu ggwanga si waya ya Kiiza- https://www.youtube.com/watch?v=T83OT3tdV7A