Poliisi efulumizza ebiragiro ku bayimbi bonna ku ngeri gye balina okutambula nga bagenda mu bivvulu okuyimba.
Poliisi eweze eziyitibwa ‘eggaali’, abayimbi zebatambula nazo nga bagenda mu bivvulu.
Okusinzira ku biragiro ebiggya, kati abayimbi bakkiriziddwa okutambula n’abantu 5 bokka omuli
– Manejja
– DJ omu
– Secretary (Omuntu awandiika entambula z’omuyimbi)
– Akwata ensimbi
– N’omukuumi omu
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti singa bakwata omuntu yenna n’abantu abasukka 5, agenda kukwatibwa.
Onyango, agamba nti kikoleddwa, okutangira abantu abo, okuddamu okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka.
Poliisi era ewakanyiza ebigambibwa nti bali ku ludda lw’omuyimbi Alien Skin.
Poliisi egamba nti Alien Skin okuvaayo natwala omusango ku Poliisi y’e Katwe, y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okunoonyereza ku nsonga z’okulumba amakaage e Makindye.
Onyango agamba nti wadde waliwo ebigambibwa nti n’omuyimbi Pallaso yalumbibwa era yakubibwa e Buloba, Pallaso yalemwa okutwala omusango ku Poliisi.
Onyango asabye Pallaso naye okutwala omusango ku Poliisi bw’aba alina obujjulizi nti yakubwa Alien Skin oba omuntu yenna.
Poliisi egamba nti tewali muyimbi yenna gwe bagenda kuttira ku liiso singa agezaako okuyingira ekivvulu n’abantu abasukka 5 kuba ebiragiro bitandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=5s