Kyaddaki abasawo ku ddwaaliro e Rubaga, bavuddeyo ku bigambibwa nti Muhammad Ssegirinya, omubaka wa Kawempe North afudde.

Enkya ya leero, amawulire gakedde kutambula nti Ssegirinya afudde era amangu ddala abakulembeze bavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okuddukira mu ddwaaliro e Rubaga, okwekeneenya embeera.

Abakulembeze omuli omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi, ababaka ba Palamenti, Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis Rubongoya n’abalala, bakedde mu ddwaaliro e Rubaga, okulaba ku mulambo gwa Ssegirinya.

Wabula nga batuuse mu ddwaaliro, abasawo basobodde okubawa amawulire ku mbeera ya Ssegirinya nga bawakanya ebigambibwa nti afudde.

Abasawo bagamba nti, “obwongo bwa Ssegirinya bulinga obufudde n’ebitundu by’omubiri ebirala bifudde naye omutima gukyalimu akakuba nga mu kiseera kino kizibu okugamba nti Ssegirinya afudde“.

Abasawo bagamba nti oluvanyuma lw’okutegeeza nnyina wa Ssegirinya, Justine Nakajumba ku mbeera ya mutabani we, awunze era amangu ddala kwekutegeeza abantu nti omutabani Ssegirinya afudde.

Mu kiseera kino abakulembeze nga bakulembeddwamu Ssenyonyi, basabye bannayuganda bonna okuvaayo okwongera okusabira Ssegirinya kuba mu kiseera kino yetaaga ssaala.

Ate abasawo nga bakulembeddwamu Sr. Dr. Grace Nannyondo bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutaasa Ssegirinya naye omutonzi yasalawo.

EBIKWATA KU MUHAMMAD SSEGIRINYA

– Yasooka kumanyika nga ‘Ssegirinya Eddoboozi lye Kyebando’.

– Yamanyika nnyo olw’okukuba amassimu ku ladiyo ez’enjawulo mu Kampala

– Ayitibwa Mr. Update

– Mubaka wa Palamenti Kawempe North

– Ali ku kaadi ya  National Unity Platform (NUP)

– Yazaalibwa mu 1988 ku kyalo Butale, Kadugala, e Masaka

Alina emyaka 37

– Yazaalibwa ne banne 4, nga ye mukulu

– Bwe yazaalibwa, yaweebwa erinnya lya Richard Ssegirinya nga yali mukatuliki.

– Bwe yafuuka omusiraamu, neyetuuma Muhammad Ssegirinya

– Yasomera ku Kadugala P/S, Kaddugala Secondary school ne Pimba secondary school, e Kyebando.

– Alina satifikeeti mu by’emmere okuva e  Netherlands.

– Yaliko loodi Kansala mu KCCA okuva e Kawempe North okuva 2016 – 2021

– Mu kulonda kwa 2021, yawangula abantu 9 ku kifo kya Kawempe North okuli Abdulatif Ssebagala Ssengendo ne Sulaiman Kidandala, eyali amyuka meeya wa Kampala.

OKUSIBWA

3 September 2021, Ssegirinya yayitibwa Poliisi ya CID okweyanjula olw’ebijambiya ebyali e Masaka, omwafiira abasukka 30.

7 September 2021, Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka, yasindika Ssegirinya n’abalala 4 omuli Allan Ssewanyana ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’obutemu n’okugezaako okutta abantu.

13 February 2023, Ssegirinya yayimbulwa okuva mu kkomera kakalu ka kkooti oluvanyuma lw’emyaka ng’ali ku limanda.

10 August 2023, Ssegirinya yatwalibwa Netherlands okufuna obujanjabi nga kigambibwa yafuna obuvune olw’okutulugunyizibwa wabula yasookera Kenya.

– Yamaze okulangirira nti 2026, agenda kuddamu okwesimbawo ku ky’omubaka wa Kawempe Northhttps://www.youtube.com/watch?v=UKsC0WTANDg&t=186s