Poliisi erwanyisa abazibu b’emmundu ssaako ne Poliisi ya buligyo, esobodde okukwata abantu 10, abagambibwa nti baludde, nga batigomya abatuuze mu bitundu bya Wamala.

Abakwate, bali myaka 19 ku myaka 30 nga bagiddwa mu disitulikiti y’e Mityana, Monisipaali y’e Nansana mu Wakiso ne disitulikiti y’e Kassanda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Racheal Kawala, abakwate, baludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bya Mityana, Kassanda ssaako ne Kampala.

Abakwate kuliko

1.       Sseguya Ivan amanyikiddwa nga Bashir myaka 19

2.       Agaba Godfrey amanyikiddwa nga Boge myaka 19

3.       Kabugo Shafik amanyikiddwa nga Fik myaka 19

4.       Kiiza Simon amanyikiddwa nga Andrew myaka 23

5.       Ndyanabo Mathias myaka 28

6.       Turyahebwa Nicholas myaka 19

7.       Nsabimana Peter amanyikiddwa nga Kajambiya myaka 22

8.       Nakitulimana Sam, myaka 20

9.       Mubibi, myaka 22

10.     Kayemba Umaru myaka 25

Kawala agamba nti Poliisi yasoose kukwata Sseguya Ivan oluvanyuma lw’okubba SACCO ku kyalo Kanyogoga e Sekanyonyi nga 27, December, 2024 era yasobodde okubayamba, okukwata abantu abalala.

Poliisi ezze efuna emisango egy’enjawulo omuli

– December 27, 2024, Ssebagereka Vincent yalumbibwa ku kyalo Kikuuta era muwala we myaka 15 yasobezebwako.

– December 27, 2024, Namilimu Noelina ku kyalo Lukingiride mu ggoombolola y’e Kalangalo yabbibwa ssente emitwalo 50.

– December 27, 2024, Ku kyalo Nakilagala, e Kalangalo, omutuuze Kasozi Samuel yabbibwa emitwalo 7.

– January 3, 2025, Ssali Matayo ne mukyala we Tumwedaze Faith yalumbibwa ku kyalo Kalangalo ne batwala amassimu, ne ssente ssaako n’okusobya ku mukozi w’awaka kyokka omukyala Tumwedaze Faith yafa nga 4, January, 2025.

– January 3, 2025, Omutuuze Kizito ow’e Kalangalo yabbibwa essimu.

– January 3, 2025, Ku kyalo Kalangalo, yabbibwa ssente za SACCO, 4,500,000 n’emisango emirala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Er2zdxhvDyA