Muhammad Ssegirinya abadde omubaka wa Kawempe North, afudde enkya ya leero mu ddwaaliro e Rubaga.

Ssegirinya abadde amaze ebbanga nga mulwadde.

EBIKWATA KU MUHAMMAD SSEGIRINYA

– Yasooka kumanyika nga ‘Ssegirinya Eddoboozi lye Kyebando’.

– Yamanyika nnyo olw’okukuba amassimu ku ladiyo ez’enjawulo mu Kampala

– Agenze okufa, abadde ayitibwa Mr. Update

– Abadde mubaka wa Palamenti Kawempe North

– Abadde ku kaadi ya  National Unity Platform (NUP)

– Yazaalibwa mu 1988 ku kyalo Butale, Kadugala, e Masaka

Afiiridde ku myaka 37

– Yazaalibwa ne banne 4, nga ye mukulu

– Bwe yazaalibwa, yaweebwa erinnya lya Richard Ssegirinya nga yali mukatuliki.

– Bwe yafuuka omusiraamu, neyetuuma Muhammad Ssegirinya

– Yasomera ku Kadugala P/S, Kaddugala Secondary school ne Pimba secondary school, e Kyebando.

– Abadde alina satifikeeti mu by’emmere okuva e  Netherlands.

– Yaliko loodi Kansala mu KCCA okuva e Kawempe North okuva 2016 – 2021

– Mu kulonda kwa 2021, yawangula abantu 9 ku kifo kya Kawempe North okuli Abdulatif Ssebagala Ssengendo ne Sulaiman Kidandala, eyali amyuka meeya wa Kampala.

OKUSIBWA

3 September 2021, Ssegirinya yayitibwa Poliisi ya CID okweyanjula olw’ebijambiya ebyali e Masaka, omwafiira abasukka 30.

7 September 2021, Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka, yasindika Ssegirinya n’abalala 4 omuli Allan Ssewanyana ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’obutemu n’okugezaako okutta abantu.

13 February 2023, Ssegirinya yayimbulwa okuva mu kkomera kakalu ka kkooti oluvanyuma lw’emyaka ng’ali ku limanda.

10 August 2023, Ssegirinya yatwalibwa Netherlands okufuna obujanjabi nga kigambibwa yafuna obuvune olw’okutulugunyizibwa wabula yasookera Kenya.

– Agenze okufa, nga yamaze okulangirira nti 2026, agenda kuddamu okwesimbawo ku ky’omubaka wa Kawempe North.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UKsC0WTANDg&t=186s