Famire y’omugenzi Muhammad Ssegirinya, mikwano gye ssaako n’abakulembeze, bakaanyiza okuteeka mu nkola ekiramo ky’omugenzi.

Ssegirinya myaka 37 wafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga, abadde mubaka wa Palamenti e Kawempe North.

Wabula olukiiko olutuuziddwa ku ddwaaliro e Lubaga omuli famire, ab’emikwano n’abakulembeze mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bakaanyiza okuteeka mu nkola ekiraamo ky’omugenzi.

Ssegirinya wadde abadde musajja Musiraamu, agenda kuziikibwa ku Ssande nga 12, January, 2025 e Masaka.

Okusinzira ku ntekateeka esomeddwa Kyagulanyi

– Olwaleero, olumbe lukumiddwa ku kitebe kya NUP, Makerere-Kavule

– Enkya ku Lwokutaano, omulambo gugenda kutwalibwa ku Palamenti ku ssaawa 3 ez’okumakya.

– Oluva ku Palamenti, bagenda kumusaalira ku muzikiti gwa Mbogo

– Okuva ku muzikiti gwa Mbogo, bagenda kutwala omulambo mu makaage e Kasangati

– Enkeera ku Lwomukaaga, bagenda kutwala omulambo gwe e Masaka

Ssegirinya agenda kuziikibwa ku Ssande.

Kyagulanyi agamba nti wadde Ssegirinya abadde musajja musiraamu, aba famire basabye abakulu mu ddiini y’obusiraamu, bakkirize, omuntu waabwe aziikibwe ku Ssande.

Agamba nti balina okulinda abantu bonna omuli ne famire y’omugenzi okuva mu nsi z’ebweru – https://www.youtube.com/watch?v=3ESUGK87pxo