Omulambo gwa Muhammad Ssegirinya gutuuse ku Palamenti y’eggwanga okusiima emirimu gye ng’abadde omubaka wa Kawempe North.

Ssegirinya yafiiridde mu ddwaaliro e Lubaga olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku ntekateeka eyalangiriddwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Ssegirinya agenda kuziikibwa ku Ssande nga 12, January, 2025 e Masaka.

  • Enkya ya leero ku Lwokutaano, omulambo gutwaliddwa ku Palamenti, okusiima emirimu gye.
  • Oluva ku Palamenti, bagenda kumusaalira ku muzikiti gwa Mbogo
  • Okuva ku muzikiti gwa Mbogo, bagenda kutwala omulambo gwe mu makaage e Kasangati.
  • Enkya ku Lwomukaaga, bagenda kutwala omulambo gwe e Masaka
  • Ssegirinya agenda kuziikibwa ku Ssande – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=10s