Okutandika okuwlira emisango egivunaanibwa Dr. Col. Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, gyongezeddwaayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga 14, January, 2025.

Besigye ne munne, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka ssaako n’okwagala okutabangula ebyokwerinda by’egwanga lino, era bakwatibwa mu ggwanga erya Kenya mu November, 2024.

Enkya ya leero, bannamateeka babasibe baleese ensonga ez’enjawulo omuli

– Batabukidde kkooti ku nsonga y’ebyokwerinda ebisukkiridde ku kkooti omuli n’okulemesa abamu ku bantu baabwe okuyingira munda.

– Bawakanya eky’okutisatiisa bannamateeka mu kkooti omuli okubasiba.

– Bannamateeka balemeddeko nti wadde Eron Kiiza yasindikiddwa mu kkomera e Kitalya okumala emyezi 9, akyali ku ttiimu ya bannamateeka ba Besigye ne Lutale.

– Balemeddeko, kkooti ebakirize okuyingira mu kkooti n’emmotoka zaabwe okusinga okubalemesa okuyingira nazo mu kkooti nga balina kuzireka bweru.

– Bawakanyiza eky’okutwala abantu babuligyo omuli Besigye ne Lutale mu kkooti y’amaggye

– Mungeri y’emu bawakanya ekya kkooti y’amagye okuwuliriza emisango egigambibwa nti gyazibwa bweru wa ggwanga

– Mungeri y’emu bawakanya ekya kkooti y’amaggye engeri gye yakwata abantu baabwe okuva ebweru w’eggwanga nga tewali kugondera mateeka.

Wabula mu kwanukula

– Kkooti eremeddeko, teri kuddamu kuyita kkooti y’amaggye akakiiko, erina kuyitibwa kkooti nga bwe kiri mu mateeka.

– Eky’omusibe Eron Kiiza, kkooti egamba nti tewali kawayiro konna kalaga nti singa bamugaana okuba ku bannamateeka ba Besigye kuba yasibiddwa, kityoboola eddembe ly’abasibe.

– Kkooti egamba nti bwe kiba bannamateeka abaliwo, tebasobola kutambuza musango, basobola okwongezaayo omusango ogwo okutuusa Kiiza lwaliva mu kkomera.

– Kkooti egamba nti omusibe, tasobola kuleetebwa mu kkooti kutambuza mirimu gye nga munnamateeka.

– Kkooti egamba nti ebigambo bya Lukwago ne banne ku by’okusanyawo kkooti, y’emu ku nsonga lwaki balina okunyweza ebyokwerinda.

– Ku ky’okuzza abantu okuva e Kenya, bannamaggye bagamba nti balina endagaano wakati w’ensi 2.

Mungeri y’emu, lisiti y’emisango ekyusiddwa, nga kigambibwa waliwo omusirikale Capt Dennis Ola myaka 42 okuva mu Dipatimenti y’ebyokulwanyisa eyazuuliddwa nti naye yeenyigira misango egyo.

Kati abantu baweze 3 abali ku misango egyo omuli Besigye, Lutale ne munnamaggye Capt Ola

Mungeri y’emu n’emisango gyongeddwako obungi, ne boongerako omusango gw’okumenya obwesigwa mu ngeri y’okulya mu nsi olukwe.

Wabula bannamateeka nga bakulembeddwamu Martha Karua balemeddeko ku nkyukakyuka, nga bagamba nti bawakanya ekya kkooti y’amaggye okuwulira emisango gy’abantu babuligyo wabula kkooti byonna ebigobye.

Kkooti egamba nti omusango nga tegunnaba kutandiika kuwulira, kikirizibwa okukola enkyukakyuka yonna bwe kiba tekityoboola ddembe lya buntu.

Wadde bingi byogeddwa, omusango gwongezeddwaayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri nga 14, January, 2025.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=11s