Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero, eddamu okuwuliriza emisango egivunaanibwa Dr. Col. Kizza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya.
Besigye ne munne, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka ssaako n’okwagala okutabangula ebyokwerinda by’egwanga lino nga baakwatibwa mu ggwanga erya Kenya mu November, 2024.
Wiiki ewedde ku Lwokubiri, munnamateeka w’abasibe Eron Kiiza yakwatibwa nga kivudde ku mbeera eyali mu kkooti, ey’okuwanyisiganya ebigambo.
Kiiza yasindikiddwa mu kkomera e Kitalya okumala emyezi 9 lwa kuzimuula kkooti n’okugiyisaamu amaaso ekimanyiddwa nga (Contempt of Court).
Wabula tekimanyiddwa oba bannamateeka babasibe nga bakulembeddwamu Martha Karua okuva e Kenya, omuloodi Ssalongo Erias Lukwago n’abalala, betegefu, okugenda mu maaso n’omusango.
Kkooti y’amaggye ekubirizibwa Brigadier General Robert Freeman Mugabe.

Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=OoOC_F9LH9c&t=11s