Famire y’omugenzi Muhammad Ssegirinya esobeddwa oluvanyuma lw’abaana abaletebwa okweyongera obungi.
Ssegirinya yafudde wiiki ewedde ku Lwokuna mu ddwaaliro e Lubaga era yaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku kyalo Kadugala, Masaka.
Yazaalibwa nga mu 1988 era yafiiridde ku myaka 37.
Wabula maama w’omugenzi Justine Ssanyu Nakajumba agamba nti oluvanyuma lwa Ssegirinya okufa, abakyala abaleeta abaana beyongedde obungi.
Aba famire bagamba nti abaana ba Ssegirinya kati baweze 20 nga kuliko n’omwana omuto myezi 9.
Bagamba bagenda okutwala omulambo gwa Ssegirinya ku Palamenti, abaana baabadde bakyali 8 wabula okuva ku Lwokutaano okutuusa olunnaku olw’eggulo ku Mmande, nga famire yakaweza abaana 20.
Mu kiseera kino, aba famire bawanjagidde Minisita w’ensonga z’abaana n’abavubuka Balaam Barugahara Ateenyi okuvaayo okuyamba okutwala abaana abaliko akabuuza mu ddwaaliro, bagibweko ndaga butonde.
Ku baana abaliko akabuuza, kuliko omwana omulenzi myaka 15 eyaleeteddwa oluvanyuma lwa Ssegirinya okufa.
Bobi mu ddwaaliro e Lubaga – https://www.youtube.com/watch?v=slIbCeZeHUE