Poliisi mu ggwanga erya Nigeria ekutte omuyimbi w’ennyimba z’eddini, ku misango gy’okusangibwa n’omutwe gw’omuntu mu nsawo.

Omuyimbi Timileyin Ajayi yakwatiddwa.

Okunoonyereza kulaga nti mu ssaza lye Nasarawa, omuyimbi yatemyeko muganzi we Salome Adaidu omutwe myaka 24.

Omuyimbi Ajayi yasangiddwa kumpi ne kkanisa bwe yabadde agenda okusaba era bwatyo, nakwatibwa.

Omugenzi Salome Adaidu n’omutemu Timileyin Ajayi

Oluvanyuma lw’okukwatibwa, Poliisi mwekebejja amakaage, bazudde ebintu eby’enjawulo omuli n’ekyambe ekigambibwa okweyambisibwa okusalako muganzi we omutwe ssaako n’ebitundu ebirala eby’omubiri.

Omugenzi abadde memba wa National Youth Service Corps mu kibuga Abuja.

Ku Poliisi akkirizza okutta muganzi we Salome era agamba nti abadde aludde ebbanga ng’asaba omutonzi amukwasizeeko okumutta obulungi.

Agamba nti muganzi we, abadde amwagala nnyo kyokka yazudde nti abadde alina abasajja abalala, bwe yakebedde mu ssimu ye ng’alina mesegi za laavu ne vidiyo eziraga nti baludde nga basinda omukwano.

Ku Poliisi era agamba nti teyejjusa kutta Salome kuba abadde yakola nsobi, okulaga nti amwagala nnyo ate nga mukyala mwenzi. Wabula omwogezi wa Poliisi mu ssaza lye Nasarawa, Ramhan Nansel agamba nti essaawa yonna, omuyimbi Ajayi bamutwala mu kkooti. – https://www.youtube.com/watch?v=dPX3sYYwxqw