Kkooti y’amagye ewadde ensala etabudde bannamateeka ba Dr. Col. Kizza Besigye, Hajji Obeid Lutale Kamulegeya ssaako ne munnaggye, eyabagatiddwako ku lunnaku lwa Mmande Capt Dennis Ola.
Besigye, Capt Ola ne Hajji Lutale, bali ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka, okulya mu nsi olukwe n’okutekateeka okutabangula ebyokwerinda by’egwanga lino.
Ku Mmande, bannamateeka nga bakulembeddwamu Matha Karua, Ssalongo Erias Lukwago bawakanyiza ekya Besigye ne Lutale, okutwalibwa mu kkooti y’amaggye ate nga bantu babuligyo, engeri gye bakwatibwamu ssaako n’emisango egibavunaanibwa.
Wabula kkooti ebadde ekubirizibwa ssentebe waayo Robert Freeman Mugabe mukuwa ensala egambye nti
- Kkooti erina obuyinza okuwuliriza emisango gy’omuntu yenna akwatiddwa nga yeenyigidde mu kuzza emisango mu Uganda n’ebweru w’eggwanga.
- Ku ngeri Besigye ne Lutale gye bakwatibwamu, kkooti eremeddeko nti erina enkolagana ne ggwanga lya Kenya ku bantu abali ku misango egya naggomola era Besigye ne Lutale bakwatiddwa mu mateeka.
- Kkooti era egamba nti erina obuyinza okuwozesa abantu nga Besigye ne banne singa bakwatibwa nga benyigidde mu kuzza emisango.
- Kkooti era egamba nti Besigye ne banne, balina okuwozesebwa mu kkooti y’amaggye kwagala bu tayagala.
Ensala ya kkooti, bannamateeka Besigye ne munne basigadde bakukuluma, nti byonna bityoboola eddembe ly’obuntu era singa bagezaako okuwozesa abantu baabwe, kikolwa kya kulya mu nsi lukwe.
Ebisaliddwawo byonna, bannamateeka ba Besigye babigaanye nga bagamba nti bikyamu ddala.
Balemeddeko, bagamba nti kkooti ya sseemateeka yerina okulamula ku nsonga ezo, wabula byonna kkooti ebigaanye.
Mungeri y’emu eky’okusaba kkooti, ebakirize bagenda mu kkooti esingawo, nabyo babigaanye.
Olwa kkooti, okugaana okuwuliriza okusaba kwabwe, Besigye ne Lutaale, balemeddeko, okugaana kkooti y’amaggye okubawozesa.
Bombi, bagaanye okukiriza emisango oba okugaana, nga kitegeeza kkooti, tesobola kubakkiriza kweyongerayo.
Bannamateeka Martha Karua ne Lukwago, bagamba nti kkooti y’amaggye eyongedde okuva ku mulamwa.
Besigye ne Lutale bazziddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga 3, Febwali, 2025.
Atadde, atadde akazito
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=y_NMMFgjy2Y