Poliisi y’e Wakiso ekutte abantu 3, abaludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Lubigi.
Abakwate basangiddwa nga basula mu ttenti mu Lubigi, era basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo, ebizze nga bibibwa.
Abakwate kuliko
– Niyonzima Richard myaka 28
– Kiiza David myaka 42
– Ngobi Ali myaka 21
Mu kikwekweeto, basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli
– Number Plates za Pikipiki 15
– Sayidi Mira za Pikipiki 6
– Amassimu 7 – Essaawa emu
– Walleti emu
– Akatabo ka Pikipiki (logbook)
– Radio ya Roboti
– Ssente za Somalia ne Uganda
– Ebintu ebimenya enzigi omuli ebiso, ebyambe, sipaana n’ebirala.
Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti abakwate baludde nga batigomya abatuuze oluvanyuma ne bayingira ensiko.
Ekikwekweeto kikoleddwa oluvanyuma lw’abatuuze, okutemya ku Poliisi ku babbi, abasukkiridde okutigomya abantu. – https://www.youtube.com/watch?v=7PGs3nNJ1N8